Olubereberye 9:1-17 “Endagaano Ya Mukama Katonda Ne Nuuwa”.

Nga bwe twaaleka tulabye mu ssuula 8, waaliwo okuddizibwa obuggya ku nsi ng’amataba gawedde, n’amazzi gakalidde ku ttaka.
Era mu kusiima Mukama ne ssaddaaka ey’okweebaliza ekisa kye eri Nuuwa n’ab’enju ye, Nuuwa we yawa Mukama omukisa, nga bwe twaabuulirwa mu 8:21…, Ne Mukama naawa Nuuwa omukisa ogweyongerwaayo ne mu ntandikwa z’essuula 9, mwe yakola naye n’endagaano, ey’okumubaza awamu n’ezzadde lye, okumugabiriranga, awamu n’okubakuumanga.
Nga mu bino byonna ndaba ng’essira liri ku bweesigwa n’obw’esimbu bwa Mukama, ne gyetuli mu biro byaffe abamukkiririzaamu nga II Kkol. 1:20 bwe lugamba nti, “Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo (Yesu Kristo) mwe muli weewaawo: era mu ye kyetuva tugamba Amiina, Katonda atenderezebwe mu ffe.”