Olubereberye 8:1-22 “Okujjukirwa Mukama Katonda Waffe”

Wali owuliddeko ng’eyerabiddwa Mukama? Oba mu ffe abebuuza “ehh tukyaali mu Mataba ga Nuuwa Sabbiiti ey’okuna? Ate ye no yagalimu n’ensolo zonna, nga teweerabidde bak’abaana basatu okumala omwaaka mulamba n’emyezi ebiri….. Abamu tumulindiridde emyaka n’ebisiibo atusaasire atuwanguze embeera ezitali zimu;- Obufumbo, Ezadde, Emirimu, Ensimbi, bingi nnyo, naye nga kiringa Malayika amukwaasa failo yaffe yamubulako….!

Kyokka nga Mukama kkenyini agamba mu Isaaya 49:14 – 16 nti………

Kyenva njagala enzivunnula ya “The Living Bible” egamba mu 8:1 nti “Mukama teyeerabira Nuuwa awamu n’ensolo zonna mu lyaato…..”