Olubereberye 44 – 45 “Okugezesebwa Okutuukiriza Okwagala Kwa Mukama.”

Omulundi ogwaggwa twaleka Yusufu (Yozefu), asoosotoledde baganda be ekijjulo mawuuno, abateeseteese mu buzaale bwaabwe okuva ku mukulu okutuuka ku muto, baabo beetunuulidde ne beewuunya. Abalambuzza olusozi Nnaalya n’ebyalo byakwo byonna ng’eŋŋombo bw’eli ebiro bino, era mu byonna naayitiriza eri Benyamini, ng’ali bagezesa oba baali bakyalina obuggya, kyokka twagambwa nti balya ne basanyukira wamu ne Yusufu (43:34).

Mu byaddako tulaba ng’abagezesa omulundi ogusembayo okkakasa oba baalina okweewerayo ddala eri buli omu munne era okusinga eri Benyamini.

Nti ku mmeeza ku kijjulo yabagezesa oba baalina obuggya(envy)ku luno abagezese okweewaayo(loyalty).