Olubereberye 26:34 – 28:9 “Okusiima Kw’Omuntu N’okwa Katonda.”

Mu ssuula zino tulaba okusika omuguwa okwabalukawo mu maka ga Isaaka okwajja okuva ku ani alina okuba ow’okutwala omukisa newankubadde nga kubaana ba Isaaka Mukama yali alonze Yakobo nga bwe kitulagibwa nga n’abaana bano tebannazaalibwa, mu ssuula 25:23.