Okuva 35,36, “Enteekateeka Z’okuzimba Weema Ya Mukama.”

Nga tuli mu ssuula yaffe eno 35, tulaba oluvannyuma lwa Musa okufuna okuddizibwa obuggya bwendagaano wakati wa Mukama nabaana ba Isirayiri nga bwe twaalaba omulundi oguwedde nti yali atandise okubawa ebiragiro bya Mukama nga bwe gwandibadde olwasooka lwe yakka okuva ku lusozi naye nasanga ebivve bye baali beetabamu ne bitabagendera bulungi.

Ku luno yasanga beetoowazza nga bamuwuliriza, bwe tusoma mu Baebbulaniya 3:3-6, zigamba nti. Musa yali muwulize eri byonna ebyamulagirwa Mukama, kyokka byonna byaali bisongereza eri Yesu Kristo.