Nga tetunnagenda mu nnaku zokujaguza kwamazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristo mwe twavaako mu misomo gyaffe mu kitabo kyokuva, twaaleka Isirayiri emaze okkangavulwa Mukama, Musa ngabegayiririra eri Mukama abaddiremu, era wadde nga baazikiriramu abamu, tutuusibwa wano Mukama lwe yayita Musa addeyo ku lusozi namayinja amalala agafaanana gali geyamenya mu busungu obungi asobole okuzza obuggya endagaano ye nabo.