Amakya ga leero, tweyongera okulaba mu byafaayo bya Isirayiri akaseera akabi ennyo, nti nga bwe twaalaba oluwedde ebyatandika ngenvuuvuumo,.Musa tebalaba bwakomawo gyebali, lwaki Alooni tabakolera bakatonda abalala okubakulembera, olwo lwonna nga bakalya emmaanu, Mukama Katonda gye yali abaliisa buli lukedde
Era omulundi oguwedde kyaali kikulu nnyo okubiraba nga bwe tweemulisaamu tooki, oba nga tubasongamu olunwe kyokka ngengalo essatu zitunuuliddwa gyetuli, nga nensajja etulumiriza eri eggulu.