Okuva 21-22:9. “Amateeka Amalala Eri Isirayiri I”

Mu ngeri yokubaga Ssemateeka wa Isirayiri, gano agamanyiddwa ngamateeka ga Musa, gaaweebwa Isirayiri okubawa okuluŋŋamizibwa kwokwagala kwa Mukama Katonda waabwe gye bali, mu mbeera, nentabagana zobulamu bwaabwe, kubanga Ye yali Kabaka waabwe kibawe empisa zobutuukirivu gyali.

Era wadde ssi ge mateeka obulamu bwaffe kwe businziirwa okutambuzibwa gatuwa okulaba mu ggo endowooza nomutima bya Mukama, nate ne gatuwa nekifaananyi kya Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga era Yye gwe gasongereza, nti mu ggatuukiriza gonna nga bwe yakola kitugwaanidde omukkiririzaamu okuba nobutuukirivu eri Mukama, kubanga ffenna tewali asobola kutuukiriza gakwaata.

Anti ne Baibuli etugamba nti amenya elimu ku ggo, aba amenyezza gonna!