Amakya ga leero nga tweyongerayo, mu kusomesebwa ku mulamwa gwe twatandika omulundi oguwede okulaba amateeka amalala Mukama Katonda kkennyini ge yawa Isirayiri ku Ssinaayi, agaalinga ssemateeka waabwe gwe baalina oggoberera okuwa nokuweesa Mukama Katonda ekitiibwa, tujjukire nti mu kiseera kino Ye yali Kabaka waabwe, nolwekyo gaali gabaweesa empisa zobutuukirivu gyali.
Nera twakinokolayo nti wadde ssi ge mateeka obulamu bwaffe kwe businziirwa okutambuzibwa gatuwa okulaba mu ggo endowooza nomutima bya Mukama, nate ne gatuwa nekifaananyi kya Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga era Yye gwe gasongereza, nti mu ggatuukiriza gonna nga bwe yakola kitugwaanidde omukkiririzaamu okuba nobutuukirivu eri Mukama, kubanga ffenna tewali asobola kutuukiriza gakwaata.