Ekiseera ekitaali kya walako ng’Abaana ba Isirayiri baakamala okuweebwa amazzi okuva mu lwaazi, oluvannyuma lw’okwemulugunyiza Musa era Mukama e Lefidimu, ekyaali enfaananyirizo y’okuweebwa Omwoyo Omutukuvu ng’obukakafu bw’okubeerawo kwa Mukama mu bbo, nga bwe twaasomesebwa omulundi ogwaggwa, tulaba nti baalumbwa omulabe eyafuulwa ow’olulango.
Tujjukire nti mu ssuula 13 twagambwa nti Mukama yabaziyiza okuyita mu nsi mwe bandyeetaaze okulwana n’abaamu nga tebanneetegekera ntalo, kyokka wano tulaba nti baalumbwa abo abaalina obukambwe gye bali ate nga baali ba luganda, kubanga Abamaleki b’ali bazzukulu ba Esawu eyali mulongo wa Isirayiri, osanga nga bawolera ggwanga olw’obusika obwabasubwa Yakobo era Isirayiri.