Okuva 18,”Obukulembeze Obuluŋŋamu.”

Oluvannyuma lw’okuwangula olutalo n’Abamaleki e Lefidimu, tubuulirwa nti nga basiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda, lwe Sinaayi. Tulaba leero nga Musa yeegattwaako Mukyala we ne batabani baabwe bombi, Ssezaala we bwe yabamuleetera ng’azze okumulabako. Nkiwa nti ebyaababaako mu ssuula 4:24-26 nga Musa avaayo ewa Yesero by’abaleetera okwaawukanamukko, kyokka nga mu kiseera kino Ssezaala we yalaba bwe kyagwaana baddiŋŋane.

Default image
admin