Amakya ga leero fenna abakkiriza n’abatakkiririza mu Yesu Kristo ensi yonna tujaguza amazaalibwa ge, ku lunaku olw’atongozebwa gajaguzibwenga mu butongole, oluvannyuma lw’emyaka nga bisatu bukya Yesu Kristo ajja ku nsi eno ng’ebyafaayo bwe biri.
Era olw’okuba omwaka gwonna tubadde tusomesebwa okuva mu kitabo ky’olubereberye era eky’entandikwa, kirungi nnyo okkimanya nti Oyo Yesu Kristo amannyiddwa amawanga n’ennimi zonna yalina okw’olesebwa kwe gyetuli mu kitabo kino mu Lubereberye 3:15, Mukama Katonda bwe yagamba omusota nti…..
Mw’ekyo ne muba ensonga ssatu mwe tulabira obukulu bw’amazaalibwa ga Yesu Kristo.