Twebaza nnyo Mukama, nti amakya ga leero tutuuse okumaliriza ensomesa zaffe mu kitabo ky’omwaka guno eky’olubereberye, era entandikwa. Ekiggweera mu bunabbi awamu n’okufa – okuvawo kwa Isirayiri awamu ne Yusufu mu bujjuvu bw’okukkiriza kwabwe mu Mukama Katonda wa Ibulayimu, Isaaka ne Isirayiri Omwesigwa, nga bwe gwaali omulamwa gwaffe omulundi ogwaggwa, eky’alina okuba nti ky’asikiriza eggwanga lyonna okusigala obumu era okunyweera mu kukkiririza n’okusinza Katonda waabwe, okutuusa we baatuuka okukisaba Falaawo mu Kuva nga bwe gwaali emyaaka 400 oluvannyuma.
Mu ngeri y’okwaatulira batabani be nga Nuuwa bwe yakola mu ssuula 9:25,26, tulaba Yakobo akuŋŋaanya batabani be ku kitanda kye ng’anaatera okufa okubawa omukisa gw’obunnabbi eri enda zaabwe gye buliggya