Tweebaza nnyo Mukama olw’ensomesa zaffe okusinziira mu kitabo kya Danyeri kubanga nze ku lwange zimpadde okusoomoozebwa okuwerako awamu n’okuyigirizibwa kungi ku Mukama n’okwagala kwe gyetuli, awamu n’okwolesebwa kw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ebijjudde amagezi amayitirivu, byonna ebinyongedde okkula mu mwooyo, n’okunyongera ebuziba mu Yye mu ngeri nnyingi. Nkiwa nti ffenna tuganyulwa nnyo mu ngeri ez’enjawulo nga bwe kyawandiikibwa mu Isaaya 55:10,11 nti……..