Abebbulaniya 3:7 – 19 “Okunyweera Mu Kulowoozanga Ku Yesu Kristo Omutukirivu II”

Mu kweyongerayo kwaffe mu musomo gwaffe amakya ga leero mu kitundu kye twatandika omulundi oguwedde nekitundu ekisooka ku mulamwa gwaffe gwokunyweera mu kulowoozanga ku Yesu Kristo omusukkulumu, Omwoyo Omutukuvu atuwa enkozesa yebyayigirizibwa kwolwo (application), ngakozesa ekyokulabirako, okwanirizibwa, okulagirwa, nensonga [ the illustration, the invitation, the instruction and the issue.] Ngensengeka yokubuulirwa bwe yandibadde emirundi egimu