Mu ssuula yaffe eyomusanvu mu nsoma zaffe mu kitabo kyAbaebbulaniya twongera amakya ga leero okukkaatirizibwa obusukkulumu bwa Kabona waffe Asinga Obukulu Yesu Kristo nga bwe guli omulamwa omukulu ennyo mu kitabo kino.
Era ku lwange bukya ntandika kisomako ku ntandikwa ya wiiki ewedde ekimbadde ennyo mu ndowooza kyenkozesezza ngomulamwa gwaffe, kubanga ndaba mu ssuula eno Obwakabona bwobwakabaka (A royal priesthood), nenzijukizibwa I Peetero 2:9 Naye mwe muli kika kironde, bakabona bwobwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza nabayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.