Abaebbulaniya 8 “Yesu Kristo Kabona Omukulu Ow’endagaano Empya.”

Mu kitabo kyaffe ekyebbaluwa eri Abaebbulaniya, obwakabona obukulu bwa Yesu Kristo mukama waffe bwe businga okusosowazibwa nga bwe kirabiddwa okuva mu ssuula 2 okutuusa mweno eyomunaana, era bwe kinaaba okutuusa mu yekkumi.

Mu ssuula yaffe eya leero, ekyagambwa mu 7:22 nti Yesu kyeyava afuuka omuyima wendagaano esinga obulungi. Kilambululwa mu kwanjulwa kwendagaano eyo empya, abasinga osanga gye balowooza obulowooza ngebitabo mu Baibuli okuva ku Matayo okutuuka ku Kubikkulirwa.

Endagaano, nga bwe kiri mu bwangu bye bigambo ebitwaalwa ngamateeka okusinziirwa entabagana wakati wabo bye kikwaatako.