Nga tuli mu kitundu kyenkomekkerezo zebbaluwa eri Abaebbulaniya, leero tweyongera okusomesebwa mu ssuula eyekkumi nemu, emanyikiddwa ennyo, ngessuula yokukkiriza, ewa entegeera yokukkiriza, awamu nebyokulabirako byokukkiriza okuva mu ndagaano enkadde, olwo ngomuwandiisi afuba okukakasa Abayudaaya be yali yakamatiza obusukkulumu bwobwakabona bwa Yesu Kristo obutuweesa obulokozi obwolubeerera nga bwe buli obwannamaddala olwokukkiriza so si olwebikolwa byennono zabajjajjababwe.
Nga bwe twaalaba omulundi oguwedde, yasooka bbategeeza okukkiriza kye kuli, nga bwe kuweesa ebisuubirwa era ebitalabwaako obukakafu bwobwannamaddala mu buliwo (Proof of the reality of the things hoped for and unseen in the present).