1 Abakkolinso “Amakulu Gw’okuzuukira Kwa Yesu Kristo Mukama Waffe.”

Amakya ga leero, nga tujaguliza wamu n’ensi amafa n’amazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristo, nga bweguli eri ensi yonna mu Sabbiiti eno, tunaakyaaluka ko okuva ku nsomesa zaffe z’omukitabo ky’olubereberye, ne tugenda mu bbaluwa ya Paulo Omutume eri abakkolinso esooka essuula 15, twekkenneenye ko ensonga enkulu nnya z’amakulu gw’okuzuukira kwa Yesu Kristo Mukama waffe.

Bukkolinso kyaali kibuga kikulu nnyo ky’Abayonaani (Greeks), ate nga bbo tebakkiririzanga mu kuzuukira kw’abafu osanga nga ne mu biro byaffe mulimu abalinga bbo, era ensonga eno yatabulanga abakkiriza abasinga ekyaleetera Paulo okubawandiikira nga bwe yakola mu ssuula eno, kubanga ebbaluwa eno okusinga yagiwandiika kuddamu bibuuzo byebaalina ebyaali biweerezebbwa gyaali awamu n’empisa enkyaamu ze yabawuliramu ze yafuba okugonjoola.