Olubereberye 18 “Okukyaaza Mukama Katonda”.

Mu nsomesa yaffe y’ekigambo kya Mukama okuva mu Lubereberye nsaba twejjukanye mu nti tuli mu kitundu eky’okubiri mwe tubuulirwa ku bulamu bw’omusajja amanyiddwa nga Jjajja w’abakkiriza era nga bwe twaalaba mu ssuula ewedde ye ne mukazi we baali batuumiddwa amannya Ibulayimu ne Saala, abaali bayitwa Ibulaamu ne Salayi, oluvannyuma lwa Mukama Katonda okkola endagaano nabo ey’olubeerera gye yabalagira okunyweeza n’akabonero k’okukomolebbwa kwa buli mulenzi na musajja mu nju yaabwe.
Oluvannyuma lwa Ibulayimu okweyongera oggondera Mukama nga bwe twabuulirwa oguwedde nti tekyaali kyangu kkola, nate tulaba Mukama bwamuddira mu kitundu kino basisinkane, nkiwa mu ngeri nga Yesu Kristo gye yagamba abayigirizwa be mu Yokaana 15:14,15 nti “Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by’akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe

Default image
admin