Oluvannyuma lwokutegeezebwa mu bukalatirivu emisingi gyokukkiriza kwe baalina okuba nakwo mu Mukama Katonda Kitaffe okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, Kabona waffe Asinga obukulu era eyali ekiweebwaayo ekisukkulumu era ekyenkomeredde kyomutango gwekibi. Omuwandiisi atandika okubuulilira Abaebbulaniya na ffenna abasomi bebbaluwa ebitugwaanidde okussa mu nkola olwokumanyisibwa nokutegeezebwa ebyo byonna.