Olubereberye 20 “Obwesigwa Bwa Katonda Okutuukiriza Ebisuubizo Bye”.

Olw’okweraliikirira okuttibwa Abafirisuuti, Ibulayimu yasalawo okulimba nga enkola ye eyedda bweyali gamba nga mu ssuula eya 12:10-20 bwe yali e Misisri naasalawo okusaba Saala ayanjulibwe nga mwannyina olwo asobole okutaasa obulamu bwe.
Buli omu yandilowoozezza nti kumulundi ogwasooka nga bali e Misiri ababiri bano (Ibulayimu ne Saala) baali tebannanywezebwa mu ku kikkiriza Katonda era nga baali bakyezimbako olukomera mu maanyi gaabwe naye nga oluvannyuma lw’okulaba Katonda byeyakola mu bulamu bwabwe baali bakyasobola okumwesiga ku nsonga yonna.