Yokaana 15:1 – 17 “Yesu Kristo Ye Muzabbiibu Gwennyini”

Nga basituse ku mmeeza, nga Yesu bwe twaaleka agamba abayigirizwa be mu kiro ky’okukwaatibwa kwe, nkiwa beeteekateeka ggenda mu lusuku, Yesu yeyongera okubeeyoleseza mu ngeri ebagumya emitima, we yabagamba nti Ye yali Omuzabbiibu Ogw’amazima, nga ‘Nze Ndi’ ey’omulundi ogw’omusanvu mu njiri ya Yokaana era esembayo mu kw’olesebwa kwe gyebali nga ‘Nze Ndi’.
Era nga bwe twaalaba omulundi ogwaggwa, kaakano yali awumbawumba okubuulirira kwe eri minywaanyi gye abayigirizwa be mu ngeri y’okukalaatirira ebikulu byonna bye yandibalekedde okumutegeerako era okutegeera obuvunaanyizibwa bwabwe. Mwe tulabira addiŋŋana emilamwa gy’okukkiriza, okwagala, obuwulize, n’obubeezi obunyweevu, byenzikiriza nti Omwoyo wa Mukama atubuulirira bulungi mu byo.