Omulamwa gw’omusomo gwaffe ogw’amakya ga leero gw’egwo egimu ku gisinga obukulu mu bulamu bwa buli omu ku nsi eno olw’ebyo ebibiri gwe byanja gyetuli; AMAZIMA N’EDDEMBE, bye tumanyi obulungi okuba okuluubirirwa kwa buli omu bukya azaalwa okutuusa lwa’abifuna mu bujjuvu era mu butuufu.
Abantu ab’abuli ggwanga ku nsi, abasajja n’abakazi, abagagga n’abaavu, abategeevu n’abatali buli omu anoonya okumanya Amazima mu bulamu era n’okuba ow’eddembe, era nga Pilaato bwe yabuuza Yesu Kristo mu Yok.18:37,38 “Amazima kye kki?” Ate nga yali yakagamwasanguliza,….. bangi mu kubulwa eky’okuddamu eri okumanya Amazima awamu n’okuba ab’eddembe beeweereddeyo ddala mu bulimba awamu n’obusibe eri bingi abandi n’okutuuka okweggya mu bulamu bw’ensi olw’okwebbika mu bbyo!