Amakya ga leero, nga tumaliriza ensomesa zaffe, ku mutwe gwa Yesu Kristo, okuba Masiya Omulokozi w’ensi, gwe tuggye mu lugero lw’entabagana ya Yesu Kristo n’omukazi omusamaliya gwe yasisinkana ku luzzi lwa Yakobo mu Busamaliya, mwe tuyigidde nti okuweebwa kw’omuntu amazzi amalamu, kuva mu kubikkulirwa kwa Mukama gyaali, awamu naye okubikkulirwa kyaali, olwo ennyonta n’emumalwaamu lubeerera, kyokka ate era n’afuuka ensibuko y’ensulo y’amazzi ago ag’obulamu emirembe n’emirembe.