Yokaana 4:21 – 42 ” Yesu Kristo Ye Masiya, Omulokozi W’ensi. Ii”

Nga tweyongerayo ku mulamwa gwe twatandika omulundi oguwedde, ogusangibwa mu lugero olumanyiddwa ng’olw’omukazi ku luzzi, mwe twaakakasibwa essira okuba ku kweyanjula kwa Yesu okuba Masiya, era okumanyibwa kwe ng’omulokozi w’ensi, twaaleka tukinokoddeyo nti okuweebwa kw’omuntu amazzi amalamu, kuva mu kubikkulirwa kwa Mukama gyaali, awamu naye okubikkulirwa kyaali, olwo ennyonta n’emumalwaamu lubeerera, kyokka ate era n’afuuka ensibuko y’ensulo y’amazzi ago ag’obulamu emirembe n’emirembe.