Yokaana 4:1 -42 ” Yesu Kristo Ye Masiya, Omulokozi W’ensi. I”

Mu ssuula mwe tulaba Yesu Kristo atwanjulirwa ng’omuwanguzi w’emmeeme z’abantu, era mwe muli olugero lw’obuweereza bwa Yesu eri Abasamaliya olusangwa mu njiri ya Yokaana yokka, sso ssi mu ndala essatu nga bwe gwaali n’olugero lwe tubadde tusomesebwaamu mu ssuula ey’okusatu, olw’ensisinkano ye ne Nikoddemu.