Yokaana 3:11 – 21 ” Buli Akkiriza Mu Yesu Kristo Aba N’obulamu Obuttaggwaawo”

Essira, ly’ennyiriri zino liva ku kwogeraganya Yesu kwe yalina ne Nikodemo, gwe yali abuuzizza bw’ayinza okuba omuyigiriza wa Isirayiri, kyokka n’atamanya ebyo bye yali amunnyonnyola, kubanga nga bwagamba mu lnny.11 obutamanya bwe bwaali businziira mu butakkiriza bwe.