Yokaana 2:1 – 11 ” Obujulirwa Bw’ekyamagero”

Yokaana akyalutugerera nga bwe gwaali mu ntandikwa z’obuweereza bwa Yesu Kristo mu wiki eyasooka, ng’amaze ottuwa obujulirwa bw’emikwano, abaali abasajja bataano, abaali abagoberezi era abayigirizwa ba Yesu abaasooka.
Nga bwe tubuulirwa mu byawandiikibwa byaffe leero kuno kwe kwaali okusooka kw’obuweereza bwa Yesu obw’omulwaatu, obw’ebikolwa n’ensomesa, obukomekkerezebwa mu ssuula 12.