Yokaana 20 “Okuzuukira Kwa Yesu Kristo II. “

Nga bwe twayanjulwa amazima ag’enkukunala omulundi ogwaggwa nti Okufa awamu n’Okuzuukira kwa Yesu Kristo gy’emisingi katugambe ng’amayinja g’okunsonda g’okukkiriza kwaffe okutuufu mu Mukama Katonda waffe mu linnya lya Yesu Kristo, mwe tujja obukakafu bw’okusonyiyibwa kw’ebibi awamu n’obuwanguzi bw’ekibi obwannamaddala obutukakasa entabagana ne Mukama Katonda waffe etufuula ab’obusika b’obulamu obutaggwaawo bwe tukkiriza ng’omulamwa gw’enjiri yaffe eno omukulu bwe guli mu lnny. 31, lw’essuula eno. Kubanga era mu byo okusinga mu bifaananyi byonna Omutume Yokaana mwe yatulagira ddala obulungi Obwakatonda ddala bw’omusajja ddala Mukama waffe Yesu Kristo, ebitugwaanidde okukkiririza ddala, era nga bwe twalaba mu I Pet. 1:3-5……