Amakya ga leero tweyongera okutunuuliza enkaliriza ebyo ebyatusomesebwa omulundi oguwedde, nga bwe twayanjulwa nti ye yali entikko y’okujja n’obuweereza bwa Mukama waffe Yesu Kristo era nga bwe guli nti yawangulira ddala mu yyo, kitugwaanira okugyegazaanyiramu, naye ng’ensonga enkulu enkomyaawo mu mulamwa gw’essuula ey’ekkumi n’omwenda, y’okufa n’okuziikibwa kwa Yesu Kristo kwe kulabulwa okusangwa mu Baebb. 2:1 – 3 nti ………. [Experience y’omwami ow’amawulire ssabbiiti ewedde…….]
N’olwekyo mu kutunuulira OBUTEREEVU BW’OKUTUUKIRIZIBWA MU KUFA N’OKUZIIKIBWA KWA YESU KRISTO. Mu ngeri nnya Omutume Yokaana atulaga obwakatonda ddala obwayolesebwa omusajja ddala Yesu Kristo Mukama waffe era akikkaatiriza mu lnny. 35 nti…….. ottuwa obuzito bw’ensonga ezaamuwandiisa ebyo, tujjukire nti gwe gwaali omulamwa gw’enjiri ye omukulu, nga bwe yagamba mu ssuula 20:31 nti ……