Amakya ga leero, mu nsomesa zaffe ezisinziira mu njiri ya Yokaana gye tulina ng’omulamwa gw’okusomesebwa kwaffe kwa buli lunaku lwa Mukama (ssi nti endala ssi zize – wabula nti lwe lwaawulwa ng’olwo ffe abamukkiririzaamu kwe tussa essira okumusiinzizaako ne tuwummulira mu Yye.), tutandika ekitundu eky’okuna era ekisembayo mu njiri eno, omutume Yokaana eyayagala era n’ayagalwa Mukama waffe mu ngeri ey’enjawulo mw’afuba okutukakasa nga Yesu Kristo bwe yali Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza tulyoke tube n’obulamu mu linnya lye.
Nga mu ssuula esooka twalaba ennyanjula n’obufunze bw’emiramwa gy’enjiri emikulu, ate okuva mu ssuula ey’okubiri okutuusa ku y’ekkuminabbiri ne tulaba obuweereza bwa Yesu Kristo eri ensi, ne mu kuva mu ssuula ey’ekkuminassatu okutuusa ku y’ekkumin’omusanvu ne tulaba obuweereza bwe obw’ekusifu eri abayigirizwa be ab’okumwanjo – ng’abalaga okwagala, ng’abasomesa, abagumya, era abawonga eri Kitaffe, era kaakano tuyingidde mu ntikko z’enjiri mu ssuula eno okutuusa ku y’abiri mw’emu mwe tulabira okufa n’okuzuukira kwa Yesu Kristo Mukama waffe.