Nga tumaze okulaba obujulirwa obwasooka, Yokaana Omutume bwe yawa, obwo obwa Yokaana omubatiza, ng’alutugerera, mu nnaku ssatu, nga bwe gwaali eri ebibinja bisatu, era mu ngeri ssatu, nti;- Waali ; Mu mulabe ; Mu mugoberere.
Leero, tugenda kulaba obujulirwa obwaweebwa abo beyasooka okuyita okumuba okumpi, abafuuka abayigirizwa be ab’okumuganjo, era abafuuka abatume be oluvannyuma, ng’esikiriza y’okwatula kw’obujulirwa bwabwe yali mukwano gwe baafuna mu nsisinkano zaabwe ne Yesu.