Mu kitundu ky’enjiri ya Yokaana kino okuva ku ssuula yaffe eno ey’13 okutuusa ku ye 17, tuyingizibwa mu kiro ekyasembayo Yesu Kristo Mukama waffe kye yalina n’abayigirizwa be, omuli ebigambo bye awamu n’ebikolwa eby’ekusifu eri minywanyi gye era abaagalwa be, bye twaaweebwa naffe Omwoyo Omutukuvu okugabana nabo mu ttuluba lye limu, olw’okukkiriza kwaffe mu kisa n’okwagala kwa Mukama waffe mu ngeri y’emu ng’abatume ba Yesu.
Mu kulaba Yesu Kristo Omuweereza Omwagazi ennyo, ng’omulamwa bwe guli mu ssuula eno, kiba nti kitugwaanidde okuwangulwa okwagala kwe mu buweereza bwe gye tuli, tusikirizibwe okuba nga Yye, – ddala abeeyita Abakristaayo – ‘Abalinga Kristo Yesu’……..