Mu kweyongerayo kwaffe, Omutume Yokaana mwatwanjulira Yesu Kristo okuba Omwana wa Katonda era Katonda mwennyini, tusobole okumukkiririzaamu era n’olw’ekyo tusobole okuba abalamu mu linnya lye, leero tulaba obujulirwa bw’oyo omu ku bajulirwa omunaana baatuwa mu njiri ye abaajulira ekyo kyennyini eri abalala bonna, okkakasa obutuufu bwakyo, waleme kuba kubuusabuusa wadde entaanya yonna.