Nga tuli mu kitundu ky’enkyuuko mu kugera kwa Yokaana Omutume ku bulamu n’obuweereza bwa yesu Kristo, leero tulaba entikko y’obuweereza bwe mu kyamagero ekyaasinga okwaatiikiriza obuweereza bwe, nga kwe yasinziira n’okweyolesa omulundi ogw’okutaano nga “NDI”, bwe yakakasa n’eky’okulabirako nti “ Nze Kuzuukira N’obulamu.
Twaali twabuulirwa dda mu ssuula esooka nti “Ebintu byonna byakolebwa ku bw’oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa. Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw’abantu.”( 1:3,4).
Era entakera tuzze tulaba Yesu bw’akakasa nti awa bonna abamukkiririzaamu obulamu obuttaggwaawo.