Yokaana 10:22 – 42 “Yesu Kristo Kwe Kuzuukira N’obulamu II”

Ebyawandiikibwa bye tumaliriza nabyo essuula yaffe eyekkumi byaaliwo mu biro by’embaga y’okutukuza kwa yekaalu, etaali emu ku mbaga z’omumateeka ga Musa mu Baleevi, wabula eyatongozebwa oluvannyuma lw’okuddizibbwa kwa yekaalu n’okusinza kw’amu eri Abayudaaya, nga omu ku batabani ba kabona Mattiya awangugge olutalo olw’amaanyi oggoba Nnakyemalira Kabaka Antioka Epifani Omusuuli eyali yawamba Isirairi n’agifuga n’obukambwe obuyitirivu obwamuvvooza ne Yekaalu, n’ayimiriza n’okukomola kw’abaana ab’obulenzi, mu 170BC. Era mu 164 BC. Oluvannyuma lw’okwegugumba okw’amaanyi Abayudaaya baddizibwa Yekaalu nebakola emikolo gy’oggitukuza ng’abiri mu ttaano omweezi gwa Kislev, gyetuli kaakano mu December, era ogukyaakuzibwa nga Hannukah, ogubaawo ffe lwe tugyaguliza Christmas, gwe bayita embaga y’amataala.