Olubereberye 7:1-24 “Amataba Omwaali Ekisa N’ekiruyi Bya Mukama Ebiyitirivu”

Amakya ga leero nga tweyongera mu nsomesa zaffe mu kitabo ky’olubereberye ekyo eky’entandikwa za buli kimu, leero tuyingizibwa mu ssuula ey’omusanvu kyokka eyalimu okuzikirizibwa okw’ekitalo, ng’okusooka omulamwa nali ngutuumye “Amataba Omwaali obulokozi n’okuzikirizibwa bya Mukama ebiyitirivu”, naye lwaakuba ekisa kya Mukama ekiyitirivu kye kyaleetera abaawona amataba okulokolebwa awamu n’ensolo zonna ezaali mu lyaato lya Nuuwa, era n’ekiruyi kye kye kyaaleetera bonna na byonna okuzikirizibwa ebyaali wabweeru w’elyaato, n’empulira nti kigwaana ne tweetegereza kanaaluzaala wa byombi.