Olubereberye 6:1-12 “Ekibi, Obugwenyufu N’okusalwa Kw’omusango”

Mu kweyongerayo kwaffe, mu nsomesa zaffe mu kitabo ky’entandikwa, ekyawandiikibwa Musa, ekyo eky’olubereberye, leero tuyingizibwa mu ssuula emanyiddwa ng’eyo ezimu ku zisinga obuzibu okutegeera olw’obuzibu bw’enzivuunula z’ebyawandiikibwa byayo. Kyokka amazima g’abyo makulu nnyo okuba nti ne mu ndagaano empya g’ogerwaako entakera era nga ne Yesu Kristo kennyini yaweerako eky’okulabirako ky’obutuufu bw’ebisuubizo bya Mukama mu nnaku ez’enkomerero.(Matt.24:37-39). Era essuula eraga obubi obuyitirivu bw’obujeemu eri Mukama obwamuleetera okusalira ensi yonna omusango n’agizikiriza mu mataba, kyokka ng’era tulabiramu ekisa kye ky’obulokozi ekiyitirivu, eky’ekwasaganya n’amajaguza g’obulokozi bwaffe mu Yesu Kristo nga bwe twakajaguza ebiro bino.