Mu kweyongerayo kwaffe kw’ensomesa z’entandikwa za byonna mu kitabo ky’entandikwa era eky’olubereberye, leero tusomesebwa mu ssuula ey’okutaano mwe tulabira olulyo lwa Adamu mu mutabani we Seezi, gwe twaaleka twanjuddwa mu ssuula 4:25,26 nti…..
Ekyatuleetera okwanjulwa ddala olulyo omwaali essuubi ly’okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Mukama Katonda eri Kaawa mu ssuula 3:15, mwe balifunira obuwerero bw’okulokolebwa eri empeera y’ekibi kyaabwe ky’obujeemu eri Mukama nga bwe gwaali.
Tujja kweetegereza nti endagaano enkadde awamu n’empya zombie zitaandikwa n’enkalala z’amannya g’obuzaaliranwa bw’abo abaatuleetera okubaawo kw’Omulokozi waffe era Mukama waffe Masiya Yesu Kristo. Ekikakasa nti y’ensongerezo y’ebyawandiikibwa byonna mu Baibuli.