Nga tweyongerayo n’omulamwa gwe twatandika omulundi oguwedde mwe tulabira entandikwa y’okukemebwa n’ekibi, era n’ebyaabivaamu kubanga nga bwe guli, mu ssuula eno mwe muviira omulamwa gw’ebyawandiikibwa byonna kubanga mu bbyo mwe muli ekkubo ly’obulokozi okuva mu kibi n’okufa kwe kyaaleetera ensi yonna n’okuzikirizibwa kwaayo.
Ng’omulundi ogwaggwa twasomesebwa ku mbala z’okukemebwa n’engeri z’okukwanŋŋanga, nga bwe twaabuulirirwa Omutume Paulo mu II Kkol. 2:11 nti “Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze”.
Leero nga tusomesebwa mu kitundu mwe tunnekkeenenyeza ekibi, nsaba tusome…