Tuli mu kitundu mu kitabo ky’olubereberye eky’essuula munaana ez’ogera ku bulamu bwa Yakobo, n’omulimu gwa Mukama mu bwo. Nga mu ssuula eno ey’28 tulaba okulokolebwa kwe, mu 29 – 32 ne tulaba okukakkanyizibwa kwe, Mu 33,34 ne tulaba okwawulwa kwe, ate ne mu 35 ne tulaba okutuukirizibwa kwe.
Yakobo yalina ensisinkano bbiri ez’enkukunala ne Mukama, eyasooka gye tulaba leero, ng’ava e Kanani adduka mukulu we Essawu, asisinkane Kojja we Labbaani e Kalani, n’ey’okubiri ng’adduka Kojja we e Kalani adda e Kanani okusisinkana mukulu we Essawu mu ssuula 32. Ekiyinza ottweeetegereza nti omuntu alina embala ng’eza Yokobo aba muddusi! [Fleeing from here to there!] Era mu ssuula 47:9 yategeeza Falaawo nti obulamu bwe tebwaamweyagaza…..