Olubereberye 22 “Okweewaayo Kwa Ssaddaaka”

Mw’ebyo ebyaabaawo, ebigererwa mu ssuula yaffe eno gyetusomesebwaamu leero mwe muli ekifaananyi ekisinga enkukunala mu ndagaano enkadde y’okweewaayo kwa Mukama waffe Yesu Kristo ottufiirira ku musaalaba ottufuula abaana ba Katonda era ab’obusika bw’obwakabaka bw’omuggulu era obwa Mukama.
Mu biweebwaayo by’omu yeekaalu era ne mu kuyimusibwa kw’omusota ku muti mu ddungu kyaggibwangayo nnyo ng’ekyeefaananyirizo ky’okufa kwa Mukama waffe ku lw’ebibi byaffe, naye mu kugezesebwa kwa Ibulayimu kuno nga bwe tulaba ku mutabani we yekka mwe mwaava obumalirivu bw’enkwaaso yeebisuubizo byonna Mukama bye yali awadde Ibulayimu omulonde era mukwano gwe, okutuukirizibwa.