Olubereberye 19 “Okujjukira Lutti”.

Mu Lukka 17:32,33, bwe yali asomesa abayigirizwa be, Mukama waffe Yesu Kristo yabagamba okujjukira mukazi wa Lutti! Nti buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya.
Era yali Yesu eyalabula wagguluko mu ssuula eyo eya Lukka17:28 -28 nti……..
Ebituwa obukakafu nti byetusoma mu ssuula yaffe eya leero mu Lub.19 ddala byatuukawo era ebibuga ebyaali byegombesa okubaamu ebyaali mu kiwonvu kya Yoludaani nga bwetubuulirwa mu Lub.13:10,11 nti waali walungi nnyo okweefaananyiriza n’ennimiro ya Mukama kaakano z’ensenyi z’omunnyo omuli ennyanja enffu, ejjudde olunnyo, awamanyiddwa ng’ewasinga obukko ku nsi eno.

Default image
admin