Mu ssuula yaffe eno lwakuba tubuulirwa gyeggweera nti Ibulaamu yalina emyaka 86, nkiwa nti etandika alina emyaka 85, olwo nga wayise emyaka 10 bukya Mukama amusuubiza nga bwe twaalaba omulundi oguwedde mu ssuula ey’ekkuminattaano, okumuwa ezadde lyaalyaaza ennyo abawe n’ensi eyo yonna mwe baali.
Na bwegutyo tubuulirwa mu nnyiriri zino nti Salaayi muka Ibulaamu yalaba ebbanga liyise ggwanvu nnyo eri okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Mukama eri bba, kwekubaako kyaayiiya, ekyaali kikkirizibwa mu bulombolombo bw’ebiro ebyo, nti Mukazi mukulu mu nju kasita teyazaalanga yasobola okuwanga bba omu ku bakozi be amuzaalire, era omwana abalwenga owa bannyinimu.
Bwe tusoma okuva ku lnny.1 – 6……….