Olubereberye 1:2-25 “Ebitonde Bya Mukama Katonda”

Vs 2-5 Ensi enjereere era atabuddwatabuddwa tetuyinza kugifumiitiriza era ne tugitegeerera ddala.

Naye tulowooza ku nsi etalina kitangaala ejjudde ekizikiza, etaalimu kintu kyonna.

Naye mumbeera ey’okutabulwatabulwa Katonda n’ayogera ekigambo newabaawo ekitangaala.

Tetumanyi kitangaala kino gyekyali kisibuka kubanga ebyaka nga enjuba n’omwezi byatondebwa mu lunyiriri olw’e 14.

Katonda ayawula ekibi ku kirungi ate n’atakoma awo naaba n’obuyinza okutonda ekirungi ne mubeerawo kw’ekibi.

Bwetugerageranya ensi etabuddwatabuddwa tutunuulira obulamu bwaffe nga tebunnafuna Kristo; nga bwakubikukujju era nga bujjudde buli kazambi n’ebikolwa eby’ekizikiza.