Ku lw’amakya ga leero, nalumirizibwa okuba n’omulamwa ‘Gw’okuzuukira Kwa Yesu Kristo Mu Bulamu Bwange’, ng’okusinga okuba n’okwejjukanya bwe gwaali e Yeerusaalemi emyaka 2,017 njagala obukakafu bw’okuzuukira kwa Yesu Kristo gy’endi n’era gyetuli ffenna bube obwo obwa nnamaddala obulina ebikakali bye buleetera obulamu bwaffe bwe bigwaanidde, kireme kuba nti tujaguzanga amazuukira ge nga bannaddiini abatakitegeeza, kubanga mu butuufu ensi yonna eri mu kujaguza amafa n’amazuukira ga Yesu Kristo mu biro bino ssi bonna bagoberezi oba bakkiriza ddala mu Yesu Kristo ate nga kye kyaamukomereza ku musaalaba, n’afa naaziikibwa, ate ku lunaku olw’okusatu n’azuukira okuva mu bafu emagombe ku lw’amaanyi ga Mukama Katonda w’eggulu n’ensi agaamulimu Yye kennyini, olwo ffenna tumukkiririzeemu era tumugobererenga emirembe gyonna.