Okuwumbawumba Enjiri Ya Yokaana “Okukkiriza Mu Yesu Kristo”

Mu mmaliriza zaffe z’ensomesa z’ekigambo kya Mukama okusinziira mu njiri nga bwe yawandiikibwa Yokaana, gwe tumanyi obulungi kaakano okuba ddala oyo eyalinga ku mabbali ga Yesu ennyo, okutuuka n’okugalamira mu kifuba kye nga bwalututtotolera era nti ye muyigirizwa Yesu gwe yayagalanga, nkiwa mu kusiima kwe olw’okwagala okungi kwe yawuliranga gyaali, okuva eri Mukama we.
Leero n’omulundi oguddako nga Mukama atusobozesezza tugenda kuwumbawumba ebitusomesebbwa ng’essira tulissa ku milamawa ebiri egisinga obukulu mu yyo, Okukkiriza, n’Okwagala.