Mu kweyongerayo kwaffe okusomesebwa mu mulamwa gwe twatandikako omulundi oguwedde, ogwasinziirirwa mu ssuula 6:1 olugamba nti “Mukama n’amugamba Musa nti “Kaakano bw’oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n’omukono ogw’amaanyi alibaleka, era n’omukono ogw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”

