Mukama Ye Mukama era asigala Ye Mukama newandibadde tubusabusa ne twewunaganya. Obutakiriza bwaffe oba obw’abalala tebujjako Mukama busobozi oba obukulu Bwe. Ye yamannyi buli kimu era tewali kibaawo nga takirizza era buli kibaawo kiba kulw’obulungi bwe okusinzira ku nkolagana Ze.